‏ Proverbs 18

Ebigambo by’Abagezi n’Abasirusiru

1Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka,
era tawuliriza magezi gamuweebwa.

2Omusirusiru tasanyukira kutegeera,
ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.

3Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako,
era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.

4Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba,
naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.

5Si kirungi kuttira mubi ku liiso,
oba okusaliriza omutuukirivu.

6Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo
era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.

7Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira,
era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.

8Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,
bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.

9Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola,
waluganda n’oyo azikiriza.

10Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi,
omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.

11Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi,
era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.

12Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.

13Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza,
buba busirusiru bwe era buswavu.

14Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde,
naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?

15Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya,
amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.

16Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza,
era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.

17Asooka okweyogerako y’afaanana ng’omutuufu,
okutuusa omulala lw’amubuuza ebibuuzo.

18Okukuba akalulu kimalawo empaka,
era kisalawo eggoye wakati w’abawakana ab’amaanyi.

19Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe ow’amaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize,
era ennyombo ziba ng’empagi z’ekigo.

20Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke;
ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.

21Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta,
era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.

22Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,
era aganja eri Mukama.

23Omwavu yeegayirira,
naye omugagga addamu na bbogo.

24Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira,
naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.
Copyright information for LugEEEE