‏ Proverbs 19

1Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.

2Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya,
n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.

3Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe,
kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.

4Obugagga buleeta emikwano mingi,
naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.

5Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro.

6Bangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,
era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.

7Baganda b’omwavu bonna bamwewala,
mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala?

Wadde abagoberera ng’abeegayirira,
naye tabalaba.

8Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye,
n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.

9Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.

10Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya,
kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira?

11Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala,
era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.

12Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.

13Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira,
n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.

14Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,
naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

15Obugayaavu buleeta otulo tungi,
n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala.

16Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe,
naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.

17Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama,
era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.

18Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi,
oleme kumuwaayo mu kuzikirira.

19Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe,
kubanga ne bw’omununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana.

20Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa,
oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.

21Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;
byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.

22Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo,
okuba omwavu kisinga okuba omulimba.

23Okutya Mukama kutuusa mu bulamu;
olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.

24Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya,
n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe.

25Kangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye,
buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera.

26Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina,
aleeta obuswavu n’obuyinike.

27Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa,
onoowaba okuva ku bigambo by’okumanya.

28Omujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima,
n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.

29Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi,
n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.
Copyright information for LugEEEE