Proverbs 2
Empeera y’Okunoonya Amagezi
1Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
2era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
3ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
4bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
5awo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
6Kubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
7 Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
8Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.
9Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
weewaawo buli kkubo eddungi.
10Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
11Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga
n’okutegeera kunaakukuumanga:
12Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,
n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
13abaleka amakubo ag’obutuukirivu
ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
14abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,
abanyumirwa eby’obusirusiru,
15abantu abo be b’amakubo amakyamu,
era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.
16Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
n’amakubo ge galaga eri abafu.
19Tewali n’omu agenda ewuwe adda
wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
20Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda
era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.
21Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi,
era abo abagolokofu baligisigalamu.
22Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi,
n’abatali beesigwa balizikirizibwa.
Copyright information for
LugEEEE