‏ Proverbs 4

Amagezi ge gali ku Ntikko

1Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe,
era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
2Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;
temulekanga biragiro byange.
3Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange,
omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
4yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,
kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
5Funa amagezi; funa okutegeera,
teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
6Togalekanga, nago ganaakukuumanga,
gaagale nago ganaakulabiriranga.
7Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;
noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
8Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa,
gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
9Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa,
era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.”

Enjawulo wakati w’Ab’amagezi n’Abagwenyufu

10Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange
olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
11Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi,
ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.
12Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa;
era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.
13Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:
kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
14Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi,
wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
15Lyewalenga, tolitambulirangamu,
liveeko okwate ekkubo lyo.
16Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi,
era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
17Okukola ebibi y’emmere yaabwe,
n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.

18Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo,
eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte,
tebamanyi kibaleetera kwesittala.

20Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange;
osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21ebigambo bino tebikuvangako,
bikuumire ddala mu mutima gwo,
22kubanga bya bulamu eri abo ababifuna,
era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,
kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
24Weewalire ddala eby’obubambavu
era n’okwogera ebya swakaba.
25Amaaso go gatunulenga butereevu,
era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
26Ttereeza bulungi amakubo go;
okwate amakubo ageesigika gokka.
27Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;
ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
Copyright information for LugEEEE