Proverbs 9
Empagi z’Amagezi Omusanvu
1Amagezi gazimbye ennyumba yaago,gagizimbidde ku mpagi musanvu.
2Gategese ennyama yaago ne wayini ▼
▼Wayini yatabulwangamu ebyakaloosa aka mooli, yeeyongere okuwoomerera.
waago;gategese ekijjulo.
3Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere
mu bifo ebigulumivu nti,
4“Buli atalina kutegeera akyameko wano!”
Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
5“Mujje mulye ku mmere yange
era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
6Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu,
era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”
7Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa,
n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.
8Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye
nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.
9Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi,
yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.
10“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
11Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo,
era olyongerwako emyaka.
12Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba,
naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”
13Omukazi omusirusiru aleekaana,
taba na mpisa era taba na magezi!
14Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye,
ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,
15ng’akoowoola abo abayitawo,
ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.
16Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.”
Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,
17“Amazzi amabbe nga gawooma!
emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”
18Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira,
era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe.
Copyright information for
LugEEEE