‏ Psalms 101

Zabbuli ya Dawudi.

1Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
2Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,
naye olijja ddi gye ndi?

Nnaabeeranga mu nnyumba yange
nga siriiko kya kunenyezebwa.
3Sijjanga kwereetereza kintu
kyonna ekibi.

Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;
sijjanga kubyeteekako.
4Sijjanga kuba mukuusa;
ekibi nnaakyewaliranga ddala.

5Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,
nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala
sijja kubigumiikirizanga.

6Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,
balyoke babeerenga nange;
akola eby’obutuukirivu
y’anamperezanga.

7Atayogera mazima
taabeerenga mu nnyumba yange.
Omuntu alimba
sirimuganya kwongera kubeera nange.

8Buli nkya nnaazikirizanga
abakola ebibi bonna mu nsi,
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala
mu kibuga kya Mukama.
Copyright information for LugEEEE