‏ Psalms 104

1Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
ojjudde obukulu n’ekitiibwa.

2Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
n’abamba eggulu ng’eweema,
3n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
4Afuula empewo ababaka be,
n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.

5Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
teyinza kunyeenyezebwa.
6Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7Bwe wagaboggolera ne gadduka;
bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8gaakulukutira ku nsozi ennene,
ne gakkirira wansi mu biwonvu
mu bifo bye wagategekera.
9Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
na kuddayo kubuutikira nsi.

10Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
ne biyimbira mu matabi.
13Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
n’ebirime abantu bye balima,
balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
n’emmere okumuwa obulamu.
16Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.

19Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
ne bakola okutuusa akawungeezi.

24Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
ensi ejjudde ebitonde byo.
25Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
ejjudde ebitonde ebitabalika,
ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27Ebyo byonna bitunuulira ggwe
okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28Bw’ogibiwa,
nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
ne bikkusibwa.
29Bw’okweka amaaso go
ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
nga biddayo mu nfuufu.
30Bw’oweereza Omwoyo wo,
ne bifuna obulamu obuggya;
olwo ensi n’ogizza buggya.

31Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32Atunuulira ensi, n’ekankana;
bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.
Copyright information for LugEEEE