‏ Psalms 113

1Mutendereze Mukama!

Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
mutendereze erinnya lya Mukama.
2Erinnya lya Mukama litenderezebwe
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
3Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

4 Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
5Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
6ne yeetoowaza
okutunuulira eggulu n’ensi?

7Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
8n’abatuuza wamu n’abalangira,
awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
9Omukazi omugumba amuwa abaana,
n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.

Mutendereze Mukama!
Copyright information for LugEEEE