‏ Psalms 118

1Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

2Kale Isirayiri ayogere nti,
“Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
3N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4Abo abatya Mukama boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

5Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
n’annyanukula, n’agimponya.
6 Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
Abantu bayinza kunkolako ki?
7 Mukama ali nange, ye anyamba.
Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.

8Kirungi okwesiga Mukama
okusinga okwesiga omuntu.
9Kirungi okuddukira eri Mukama
okusinga okwesiga abalangira.
10Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11Banneebungulula enjuuyi zonna;
naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
mu linnya lya Mukama nabawangula.
13Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
naye Mukama n’annyamba.
14 Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
afuuse obulokozi bwange.

15Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
“Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 Mukama ambonerezza nnyo,
naye tandese kufa.
19Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
nnyingire, neebaze Mukama.
20Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21Nkwebaza kubanga onnyanukudde
n’ofuuka obulokozi bwange.

22Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23Kino Mukama ye yakikola;
era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.

25Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 Mukama ye Katonda,
y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Copyright information for LugEEEE