‏ Psalms 121

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.

3Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.

5 Mukama ye mukuumi wo;
Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
6emisana enjuba teekwokyenga,
wadde omwezi ekiro.

7 Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
anaalabiriranga obulamu bwo.
8 Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Copyright information for LugEEEE