‏ Psalms 124

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

1Isirayiri agamba nti,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
2singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
abalabe baffe bwe baatulumba,
3banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
4Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
ne mukoka n’atukulukutirako;
5amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
ganditukuluggusizza.

6 Mukama atenderezebwe
atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
7Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
naffe tuwonye!
8Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
Copyright information for LugEEEE