‏ Psalms 128

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1Balina omukisa abatya Katonda;
era abatambulira mu makubo ge.
2Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
3Mu nnyumba yo,
mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
nga beetoolodde emmeeza yo.
4Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
omuntu atya Mukama.

5 Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
6Owangaale olabe abaana b’abaana bo!

Emirembe gibeere mu Isirayiri.
Copyright information for LugEEEE