‏ Psalms 129

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1Isirayiri ayogere nti,
“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
2Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
naye tebampangudde.
3Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4kyokka Mukama mutuukirivu;
amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

5Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
era bazzibweyo emabega nga baswadde.
6Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba
Obusolya bw’ennyumba z’omu Isirayiri zaalina ettaka waggulu ku zo eryali litabuddwamu evvu n’omusenyu. Enkuba bwe yatonnyanga, mwamerangamu omuddo, kyokka omuddo ogwo gwakalanga mangu ddala olw’omusana okugwakako kubanga emirandira gyagwo tegyagendanga wala wansi mu kasolya
,
oguwotoka nga tegunnakula.
7Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
8Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”
Copyright information for LugEEEE