Psalms 131
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. 1Ayi Mukama siri wa malala,so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
3Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Copyright information for
LugEEEE