Psalms 143
Zabbuli Ya Dawudi. 1Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
11Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
ozikirize n’abanjigganya bonna,
kubanga nze ndi muddu wo.
Copyright information for
LugEEEE