Psalms 2
1Lwaki amawanga geegugungan’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
2Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
3“Ka tukutule enjegere zaabwe,
era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”
4Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
5N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
6N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”
7Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama: kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
olwa leero nfuuse kitaawo.
8Nsaba,
nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
9Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”
10Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11Muweereze Mukama nga mumutya,
era musanyuke n’okukankana.
12Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.
Copyright information for
LugEEEE