Psalms 29
Zabbuli ya Dawudi. 1Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
2Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
3Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni ▼
▼Siriyooni linnya eribbulwa mu bitundu bya Kalumooni. Kalumooni ye yali ensalo ey’omu bukiikakkono obw’ensi ensuubize
ng’ennyana y’embogo.7Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
10 Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
11 Mukama awa abantu be amaanyi;
Mukama awa abantu be emirembe.
Copyright information for
LugEEEE