Psalms 3
Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu. 1Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
2Bangi abanjogerako nti,
“Katonda tagenda kumununula.”
3Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
4Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,
n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.
5Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
kubanga Mukama ye ampanirira.
6Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
abanneetoolodde, okunnumba.
7Golokoka, Ayi Mukama,
ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
omenye oluba lw’abakola ebibi.
8Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.
Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.
Copyright information for
LugEEEE