‏ Psalms 33

Zabbuli ya Dawudi.

1Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
2Mutendereze Mukama n’ennanga,
mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
3Mumuyimbire oluyimba oluggya;
musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.

4Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
mwesigwa mu buli ky’akola.
5 Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

6 Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
7Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
8Ensi yonna esaana etyenga Mukama,
n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
9kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
n’alagira n’eyimirira nga nywevu.

10 Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
11Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.

12Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 Mukama asinziira mu ggulu
n’alaba abaana b’abantu bonna;
14asinziira mu kifo kye mw’abeera
n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
ne yeetegereza byonna bye bakola.

16Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19abawonya okufa,
era abawonya enjala.

20Tulindirira Mukama nga tulina essuubi,
kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.
21Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza,
kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.
22Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe,
Ayi Mukama, ng’essuubi lyaffe bwe liri mu ggwe.
Copyright information for LugEEEE