Psalms 36
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 1Nnina obubaka mu mutima gwangeobukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
tatya Katonda.
2Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
oba okukyawa ekibi kye.
3Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
takyalina magezi era takyakola birungi.
4Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu,
era ebitali bituufu tabyewala.
5Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
obwesigwa bwo butuuka ku bire.
6Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
7Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
baddukira mu biwaawaatiro byo.
8Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
9Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
era gw’otwakiza omusana.
10Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11Ab’amalala baleme okunninnyirira,
wadde ababi okunsindiikiriza.
12Laba, ababi nga bwe bagudde!
Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.
Copyright information for
LugEEEE