Psalms 46
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola. 1Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
3amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.
4Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
5Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
6Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.
7 Mukama ow’Eggye ali naffe,
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
8Mujje, mulabe Mukama by’akola,
mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
9Y’akomya entalo mu nsi yonna;
akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
Nnaagulumizibwanga mu nsi.
11Katonda ow’Eggye ali naffe;
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
Copyright information for
LugEEEE