Psalms 47
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. 1Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
2 Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
Ye Kabaka afuga ensi yonna.
3Yatujeemululira abantu,
n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
4Yatulondera omugabo gwaffe,
Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.
5Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
6Mutendereze Katonda, mumutendereze.
Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze. ▼
▼Okutenderezebwa kwakolebwanga ne Siyofa, ejjembe eryafuuyibwanga okulangirira Omwaka Omuggya
7Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.
8Katonda afuga amawanga gonna;
afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
9Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
Katonda agulumizibwenga nnyo.
Copyright information for
LugEEEE