Psalms 48
Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola. 1Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyomu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
ekibuga kya Kabaka Omukulu;
3Katonda mw’abeera;
yeeraze okuba ekigo kye.
4Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
ne bakyolekera bakirumbe;
5bwe baakituukako ne bakyewuunya,
ne batya nnyo ne badduka;
6nga bakankana,
ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
7Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.
8Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
mu kibuga kya Katonda waffe,
kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
9Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
nga tuli mu Yeekaalu yo.
10Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11Sanyuka gwe Sayuuni,
musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
kubanga Katonda alamula bya nsonga.
12Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
mubale n’ebigo byakyo.
13Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.
14Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.
Copyright information for
LugEEEE