‏ Psalms 50

Zabbuli ya Asafu.

1Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
akoowoola ensi
okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
2Katonda ayakaayakana
ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
3Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
4Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
azze okusalira abantu be omusango.
5Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
6Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.

7“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
Nze Katonda, Katonda wo.
8Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
9Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
12Singa nnumwa enjala sandikubuulidde:
kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13Ndya ennyama y’ente ennume,
wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?

14“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
15Bw’obanga mu buzibu,
nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”

16Naye omubi Katonda amugamba nti, “Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
n’endagaano yange togyogerangako.
17Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa,
n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
18Bw’olaba omubbi, ng’omukwana;
era weetaba n’abenzi.
19Okolima era olimba;
olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
20Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera,
era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
21Ebyo byonna obikoze, ne nsirika,
n’olowooza nti twenkanankana.
Naye kaakano ka nkunenye,
ebisobyo byonna mbikulage.

22“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo,
nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
23Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza,
era ateekateeka ekkubo
ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”
Copyright information for LugEEEE