‏ Psalms 53

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
tewali n’omu akola kirungi.
2Katonda atunuulira abaana b’abantu
ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
era abamunoonya.
3Bonna bamukubye amabega
ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
tewali n’omu.

4Aboonoonyi tebaliyiga?

Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Katonda.
5Balitya okutya okutagambika;
kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
kubanga Katonda yabanyooma.

6Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.
Copyright information for LugEEEE