‏ Psalms 54

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”

1Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
2Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

3Abantu be simanyi bannumba;
abantu abalina ettima abatatya Katonda;
bannoonya okunzita.

4Laba, Katonda ye mubeezi wange,
Mukama ye mukuumi wange.

5Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
obazikirize olw’obwesigwa bwo.

6Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;
ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,
kubanga ddungi.
7Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;
era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.
Copyright information for LugEEEE