‏ Psalms 73

EKITABO III

Zabbuli 73–89

Zabbuli ya Asafu.

1Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
n’eri abo abalina omutima omulongoofu.

2Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
era n’ebigere byange okuseerera.
3Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.

4Kubanga tebalina kibaluma;
emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
5Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
So tebalina kibabonyaabonya.
6Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
7Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
balina bingi okusinga bye beetaaga.
8Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
9Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
ne banywa amazzi mangi.
11Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”

12Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.

13Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14Naye mbonaabona obudde okuziba,
era buli nkya mbonerezebwa.

15Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
nakisanga nga kizibu nnyo,
17okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
ne ntegeera enkomerero y’ababi.

18Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
obasudde n’obafaafaaganya.
19Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.

21Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.

23Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24Mu kuteesa kwo onkulembera,
era olintuusa mu kitiibwa.
25Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
era ye wange ennaku zonna.

27Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira;
kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
28Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.
Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;
ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.
Copyright information for LugEEEE