Psalms 74
Zabbuli ya Asafu. 1Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
2Ojjukire abantu bo be wagula edda;
ekika kye wanunula okuba ababo.
Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
3Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.
4Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
5Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
abatema emiti mu kibira.
6Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
era ne babissessebbula n’obubazzi.
7Bookezza awatukuvu wo;
ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
8Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.
9Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?
12Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
gw’oleeta obulokozi mu nsi.
13Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
ate n’okaza n’emigga
egyakulukutanga bulijjo.
16Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.
18Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20Ojjukire endagaano yo;
kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
n’okuleekaana okwa buli kiseera.
Copyright information for
LugEEEE