Psalms 82
Zabbuli ya Asafu. 1Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,ng’alamula bakatonda.
2Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
nga musalira abanafu?
3Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
4Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.
5Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
Batambulira mu kizikiza;
emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.
6Njogedde nti, Muli bakatonda,
era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
7“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”
8Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
kubanga amawanga gonna gago.
Copyright information for
LugEEEE