Psalms 85
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. 1Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;Yakobo omuddizza ebibye.
2Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
3Ekiruyi kyo kyonna okirese,
n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.
4Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
oleke okutusunguwalira.
5Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
6Tolituzaamu ndasi,
abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
7Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
era otuwe obulokozi bwo.
8Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
Copyright information for
LugEEEE