Psalms 87
Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba. 1Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.2 Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
3Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
ggwe ekibuga kya Katonda.
4“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
5Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
“Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
6 Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”
7Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”
Copyright information for
LugEEEE