‏ Psalms 92

Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.

1Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.

4Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
5Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
6Omuntu atalina magezi tamanyi;
n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
7newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!

8Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.

9Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
abalabe bo balizikirira,
abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
n’onfukako amafuta amalungi.
11Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.

12Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
Copyright information for LugEEEE