Psalms 100
Zabbuli ey’okwebaza. 1Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.2Muweereze Mukama n’essanyu;
mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.
3Mumanye nga Mukama ye Katonda;
ye yatutonda, tuli babe,
tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.
4Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,
ne mu mpya ze n’okutendereza;
mumwebaze mutendereze erinnya lye.
5Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;
n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.
Copyright information for
LugEEEE