Psalms 102
Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama. 1Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
2Tonneekweka
mu biseera eby’obuyinike bwange.
Ntegera okutu kwo
onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!
3Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,
n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
4Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;
neerabira n’okulya emmere yange.
5Olw’okwaziirana kwange okunene,
nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
6Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,
era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
7Nsula ntunula,
nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
8Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;
abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
9Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
10Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;
onneegobyeko n’onsuula eyo.
11Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;
mpotoka ng’omuddo.
12Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13Olisituka n’osaasira Sayuuni,
kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
era n’alabika mu kitiibwa kye.
17Alyanukula okusaba kw’abanaku;
talinyooma kwegayirira kwabwe.
18Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,
abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
19Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;
Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
20okuwulira okusinda kw’abasibe,
n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
21Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,
bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
22abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,
okusinza Mukama.
23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;
akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
24Ne ndyoka mmukaabira nti,
“Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
n’emyaka gyo tegirikoma.
28Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;
ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”
Copyright information for
LugEEEE