Psalms 106
1Mumutendereze Mukama!Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
2Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
3Balina omukisa abalina obwenkanya,
era abakola ebituufu bulijjo.
4Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
nange onnyambe bw’olibalokola,
5ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
era ntendererezenga mu bantu bo.
6Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
7Bakadde baffe
tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
8Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
9Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10Yabawonya abalabe baabwe;
n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
ne wataba n’omu awona.
12Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
ne bayimba nga bamutendereza.
13Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15Bw’atyo n’abawa kye baasaba,
kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.
16Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
ne Alooni abalonde ba Mukama.
17Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;
Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20Ekitiibwa kya Katonda
ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21Ne beerabira Katonda eyabanunula,
eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23N’agamba nti,
Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.
24Baanyooma eby’ensi ennungi,
kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25Beemulugunyiriza mu weema zaabwe,
ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26Kyeyava yeerayirira
nti alibazikiririza mu ddungu,
27era nga n’abaana baabwe
balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.
28Baatandika okusinza Baali e Peoli;
ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
kawumpuli kyeyava abagwamu.
30Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,
kawumpuli n’agenda.
31Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu
emirembe gyonna.
32Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
ne baleetera Musa emitawaana;
33kubanga baajeemera ebiragiro bye,
ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.
34Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
nga Mukama bwe yali abalagidde,
35naye beetabika n’abannaggwanga ago
ne bayiga empisa zaabwe.
36Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
ne bibafuukira omutego.
37Baawaayo batabani baabwe
ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.
40 Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
n’akyawa ezzadde lye.
41N’abawaayo eri amawanga amalala,
abalabe ne babafuga.
42Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
ne babatuntuza nnyo ddala.
43Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
naye obujeemu ne bubalemeramu,
ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.
44Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
n’abakwatirwa ekisa;
45ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46N’abaleetera okusaasirwa
abo abaabawambanga.
47Ayi Mukama Katonda,
otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
era tusanyukenga nga tukutendereza.
48 Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
emirembe n’emirembe.
Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”
Mumutendereze Mukama.
Copyright information for
LugEEEE