‏ Psalms 109

Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Ayi Katonda wange gwe ntendereza,
tonsiriikirira.
2Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba,
banjogeddeko eby’obulimba.
3Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,
ne bannumbagana awatali nsonga.
4Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;
kyokka nze mbasabira.
5Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;
bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.

6Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;
wabeewo amuwawaabira.
7Bwe banaawoza, omusango gumusinge;
n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
8Aleme kuwangaala;
omuntu omulala amusikire.
9Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,
ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;
bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11Amubanja ajje awambe ebibye byonna;
n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12Waleme kubaawo amusaasira,
wadde akolera abaana be ebyekisa.
13Ezzadde lye lizikirizibwe,
n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;
n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,
n’ensi ebeerabirire ddala.

16Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;
naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,
n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo,
ne kumutobya ng’amazzi,
ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,
era abanjogerako eby’akabi ebyereere.

21Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,
nnwanirira olw’erinnya lyo;
era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,
n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;
mmansuddwa eri ng’enzige.
24Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;
omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25Abandoopaloopa bansekerera;
bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.

26Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange!
Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27Baleke bategeere nti ggwe okikoze,
n’omukono gwo Ayi Mukama.
28Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
Leka abannumbagana baswale,
naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29Abandoopa baswazibwe,
n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.

30Nneebazanga Mukama n’akamwa kange;
nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.
31Kubanga alwanirira omunaku ali mu kwetaaga,
n’amuwonya abo abaagala afe.
Copyright information for LugEEEE