Psalms 115
1Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.
2Lwaki amawanga gabuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
3Katonda waffe ali mu ggulu;
akola buli ky’ayagala.
4Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
5Birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba.
6Birina amatu, naye tebiwulira;
birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7Birina engalo, naye tebikwata;
birina ebigere, naye tebitambula;
ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
8abakozi ababikola,
n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.
9Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
Mukama anaabawanga omukisa.
14 Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
mmwe n’abaana bammwe.
15 Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
abawe omukisa.
16Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
naye ensi yagiwa abantu bonna.
17Abafu tebatendereza Mukama,
wadde abo abaserengeta emagombe.
18Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Mutendereze Mukama!
Copyright information for
LugEEEE