‏ Psalms 120

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
era n’annyanukula.
2Omponye, Ayi Mukama,
emimwa egy’obulimba,
n’olulimi olw’obukuusa.

3Onooweebwa ki,
era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
4Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.

5Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
nsula mu weema za Kedali!
6Ndudde nnyo
mu bantu abakyawa eddembe.
7Nze njagala mirembe,
naye bwe njogera bo baagala ntalo.
Copyright information for LugEEEE