Psalms 130
Oluyimba nga balinnya amadaala. 1Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.2Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
5Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
6Emmeeme yange erindirira Mukama;
mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.
7Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
era y’alina okununula okutuukiridde.
8 Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
mu byonoono bye byonna.
Copyright information for
LugEEEE