Psalms 133
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. 1Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
2Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
3Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
n’obulamu emirembe gyonna.
Copyright information for
LugEEEE