‏ Psalms 142

Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.

1Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.

3Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.

5Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”

6Owulire okukaaba kwange,
kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
kubanga bansinza nnyo amaanyi.
7Nziggya mu kkomera,
ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.
Copyright information for LugEEEE