Psalms 148
1Mutendereze Mukama!Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
2Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
3Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
4Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
6Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.
7Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
8mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
9mmwe agasozi n’obusozi,
emiti egy’ebibala n’emivule;
10ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12abavubuka abalenzi n’abawala;
abantu abakulu n’abaana abato.
13Bitendereze erinnya lya Mukama,
kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14Abantu be abawadde amaanyi,
era agulumizizza abatukuvu be,
be bantu be Isirayiri abakolagana naye.
Mutendereze Mukama.
Copyright information for
LugEEEE