‏ Psalms 15

Zabbuli ya Dawudi.

1Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?

2Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
3Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
4Anyooma ababi,
naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
ne bwe kiba nga kimulumya.
5Bw’awola tasaba magoba;
so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.

Oyo akola ebyo
aliba munywevu emirembe gyonna.
Copyright information for LugEEEE