Psalms 22
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 1Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?Lwaki ogaana okunnyamba
wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
2Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
3Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
era ettendo lya Isirayiri yonna.
4Bajjajjaffe baakwesiganga;
baakwesiga naawe n’obawonya.
5Baakukoowoolanga n’obalokola;
era baakwesiganga ne batajulirira.
6Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
7Bonna abandaba banduulira,
era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
8“Yeesiga Mukama;
kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
kale nno amulokole!”
9Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
era wampa okukwesiga
ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.
11Tobeera wala nange,
kubanga emitawaana ginsemberedde,
ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.
12Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
zisseddume enkambwe ez’e Basani ▼
▼Basani kyali kifo ekyali ku luuyi olw’obukiikakkono obw’ebuvanjuba, era kyali kimanyiddwa olw’ente zisseddume ez’amaanyi ate nga nsava.
zinzingizizza.13Banjasamiza akamwa kaabwe
ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14Ngiyiddwa ng’amazzi,
n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.
16Abantu ababi banneetoolodde;
banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
17Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18Bagabana engoye zange;
era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.
19Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20Omponye okuttibwa n’ekitala;
obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21Nzigya mu kamwa k’empologoma,
omponye amayembe g’embogo enkambwe.
22Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24Kubanga tanyooma kwaziirana
kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
25Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
27Ensi zonna zirijjukira
ne zikyukira Mukama,
ebika byonna eby’amawanga gonna
birimuvuunamira.
28Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama,
era y’afuga amawanga gonna.
29Abagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza.
Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira,
abatakyali balamu.
30Ezadde lyabwe lirimuweereza;
abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
31N’abo abatannazaalibwa
balibuulirwa obutuukirivu bwe nti,
“Ekyo yakikoze.”
Copyright information for
LugEEEE