Psalms 28
Zabbuli ya Dawudi. 1Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
nga nkukaabirira okunnyamba.
3Tontwalira mu boonoonyi,
abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
obabonereze nga bwe basaanidde.
5Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
era talibaddiramu.
6Atenderezebwe Mukama,
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7 Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
8 Mukama y’awa abantu be amaanyi,
era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
9Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.
Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.
Copyright information for
LugEEEE