‏ Psalms 32

Zabbuli ya Dawudi.

1Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

3Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.

5Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.

6Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
7Oli kifo kyange mwe nneekweka,
ononkuumanga ne situukwako kabi
era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.

8Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
9Temubeeranga ng’embalaasi
oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10Ababi balaba ennaku nnyingi;
naye abeesiga Mukama bakuumirwa
mu kwagala kwe okutaggwaawo.

11Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.
Copyright information for LugEEEE