Psalms 34
Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira. 1Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
2Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
3Kale tutendereze Mukama,
ffenna tugulumizenga erinnya lye.
4Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
5Abamwesiga banajjulanga essanyu,
era tebaaswalenga.
6Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
7Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.
8Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
Balina omukisa abaddukira gy’ali.
9Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
kubanga abamutya tebaajulenga.
10Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11Mujje wano baana bange, mumpulirize;
mbayigirize okutya Mukama.
12Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
noonya emirembe era ogigobererenga.
15Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.
17Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
19Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi,
naye byonna Mukama abimuyisaamu.
20Amagumba ge gonna Mukama agakuuma,
ne watabaawo na limu limenyeka.
21Ekibi kiritta abakola ebibi,
n’abalabe b’abatuukirivu balibonerezebwa.
22 Mukama anunula abaweereza be;
so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa.
Copyright information for
LugEEEE