‏ Psalms 7

Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.

1Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
ngobaako bonna abangigganya era omponye,
2si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.

3Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
era ng’engalo zange ziriko omusango,
4obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
5Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
bankube wansi banninnyirire,
banzitire mu nfuufu.

6Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
Golokoka, Ayi Katonda wange,
onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
7Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
obafuge ng’oli waggulu ennyo.
8Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era n’amazima agali mu nze bwe gali.
9Ayi Katonda omutukuvu,
akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
era onyweze abatuukirivu.

10Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11Katonda mulamuzi wa mazima;
era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 Mukama awagala ekitala kye
n’aleega omutego gwe
ogw’obusaale.
13Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
era akozesa obusaale obw’omuliro.

14Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
n’azaala obulimba.
15Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16Emitawaana gye gimwebunguludde;
n’obukambwe bwe bumuddire.

17Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.
Copyright information for LugEEEE