Psalms 9
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi. 1Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
2Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.
3Abalabe bange bazzeeyo emabega,
beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
4Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
5Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
6Abalabe obamaliddewo ddala,
n’ebibuga byabwe obizikirizza,
era tewali aliddayo kubijjukira.
7Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
8Aliramula ensi mu butuukirivu,
era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
9 Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
11Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12Ajjukira n’awoolera eggwanga
era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.
13Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
onzigye ku miryango gy’okufa.
14Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
mu miryango ▼
▼Ensonga enkulu zonna zaateesebwangako mu mulyango gw’ekibuga.
gy’omuwala wa Sayuuni:era njagulizenga mu bulokozi bwo.
15Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17Ababi balisuulibwa emagombe;
ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.
19Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.
Copyright information for
LugEEEE