‏ Psalms 90

EKITABO IV

Zabbuli 90–106

Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.

1Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
emirembe gyonna.
2Ensozi nga tezinnabaawo,
n’ensi yonna nga tonnagitonda;
okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.

3Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
4Kubanga emyaka olukumi,
gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
oba ng’ekisisimuka mu kiro.
5Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
Ku makya baba ng’omuddo omuto.
6Ku makya guba munyirivu,
naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.

7Ddala ddala obusungu bwo butumalawo,
n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
8Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go,
n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
9Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde;
tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,
oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.
Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,
era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo?
Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.

13Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.
Copyright information for LugEEEE